Genesis 49:13-15


13 aZebbulooni alibeera ku mabbali ga nnyanja;
anaabanga mwalo gw’amaato,
ensalo ze ziriba ku Sidoni.

14 bIsakaali ndogoyi ya maanyi,
ng’akutama wakati mu bisibo by’endiga;
15yalaba ng’ekifo ky’okuwummuliramu kirungi;
nga n’ensi esanyusa;
n’alyoka akkakkanya ekibegabega kye okusitula,
n’afuuka omuddu ow’okukozesebwanga emirimu egy’obuwaze.
Copyright information for LugEEEE